Joel 2:12-14

Abantu Bayitibwa Okwenenya

12 a Mukama kyava agamba nti,
“Mukomeewo gye ndi n’omutima gwammwe gwonna.
Mukomeewo n’okusiiba n’okukaaba awamu n’okukungubaga.”

13 bMuyuze emitima gyammwe
so si byambalo byammwe.
Mudde eri Mukama Katonda wammwe,
kubanga ajjudde ekisa n’okusaasira,
era tasunguwala mangu; ajjudde okwagala okutaggwaawo;
n’abandisaanidde okubonerezebwa abasonyiwa.
14 cAni amanyi obanga anaakyuka n’abasonyiwa,
n’abawa omukisa gwe
ne musobola n’okuwaayo eri Mukama Katonda wammwe
ekiweebwayo eky’emmere enkalu, n’ekiweebwayo eky’ekyokunywa?
Copyright information for LugEEEE